2 Samuel 12:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'akubagiza Batuseba mukazi we, n'agenda gy'ali, ne yeebaka naye. N'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma Solomoni. Omukama n'amwagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’akubagiza mukyala we Basuseba, ne yeetaba naye, n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi, ne bamutuuma Sulemaani, Mukama n’amwagala,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'akubagiza Basuseba mukazi we n'ayingira gy'ali n'asula naye; n'azaala omwana ow'obulenzi n'amutuuma erinnya lye Sulemaani. Mukama n'amwagala;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'akubagiza mukazi we Batuseba. N'agenda gy'ali ne yeebaka naye, n'azaala omwana ow'obulenzi, Dawudi n'amutuuma erinnya Solomooni. Mukama n'ayagala nnyo omwana,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'akubagiza Basuseba mukazi we n'ayingira gy'ali n'asula naye: n'azaala omwana ow'obulenzi n'amutuuma erinnya lye Sulemaani. Mukama n'amwagala;