2 Samuel 12:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno kuŋŋaanya eggye erisigadde, ozinde ekibuga, okikwate, kubanga nze bwe nnaakiwamba, kijja kubbulwamu linnya lyange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano kuŋŋaanya eggye lyonna, otabaale ekibuga ekikulu, okiwambe, nga sinnaba kukitwala, ne kituumibwa erinnya lyange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno kuŋŋaanya abantu bonna abasigaddewo ozingize ekibuga okimenye; nneme okumenya ekibuga ne bakituuma erinnya lyange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno kuŋŋaanya abantu bonna abasigaddewo ozingize ekibuga okiwambe, sikulwa nga nze nkiwamba ne kiyitibwa erinnya lyange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno kuŋŋaanya abantu bonna abasigaddewo ozingize ekibuga okimenye: nneme okumenya ekibuga ne bakituuma erinnya lyange.