2 Samuel 12:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baabuwe omwavu nga talina kantu, mpozzi akaliga akato; akatono kati ke yali aguze. Yakalunda, ne kakula naye wamu n'abaana be; kaalyanga ku tugaati twe; kaanyweranga ku kikopo kye; keebakanga awo mu mikono gye, leero nga kali nga kawala ke.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye omwavu nga taliiko bw’ali wabula yalina omwana gw’endiga gumu nga muluusi gwe yagula. N’alabirira omwana gw’endiga ogwo, ne gukula n’abaana be, ne gugabananga ku mmere ye, ne gunyweranga wamu naye, era n’aguleranga. Gwali ng’omwana we owoobuwala gy’ali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye omwavu teyalina kantu wabula akaana k'endiga akaluusi ke yagula n'akalabirira; ne kakulira wamu n'abaana be; kaalyanga ku mmere ye, ne kanywanga ku kikopo kye, ne kagalamira mu kifuba kye ne kaba gy'ali nga muwala we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omwavu teyalina kantu, okuggyako akaana k'endiga akaluusi ke yagula nga kato, n'akalabirira, ne kakulira mu maka ge wamu n'abaana be. Kaalyanga ku kamere ke, ne kanywa ku kikopo kye, n'akaleranga, nga kali ng'omwana we ow'obuwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye omwavu teyalina kantu wabula akaana k'endiga akaluusi ke yagula n'akalera: ne kakulira wamu naye n'abaana be; kaalyanga ku kamere ke ye, ne kanywa ku ndeku ye ye, ne kagalamira mu kifuba kye ne kaba gy'ali nga muwala we.