2 Samuel 12:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aggya ku mutwe gwa kabaka waabwe engule. Engule yali ezitowa talenta eya zaabu nnamba, ng'etoneddwako amayinja ag'omuwendo. Ne bagissa ku mutwe gwa Dawudi. Era Dawudi n'anyagulula ekibuga, n'atwala omunyago munene nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addira engule eyali eya kabaka waabwe, obuzito bwayo kilo asatu mu nnya eza zaabu, nga mu yo baateekamu amayinja ag’omuwendo, n’agyetikkira ku mutwe gwe. N’atwala n’omunyago mungi ddala okuva mu kibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aggya engule ya kabaka waabwe ku mutwe gwe; n'obuzito bwayo bwali talanta eya zaabu, ne mu yo nga mulimu amayinja ag'omuwendo omungi; n'eteekebwa ku mutwe gwa Dawudi. Mu kibuga n'aggyamu omunyago mungi nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'aggya engule ku mutwe gwa kabaka waabwe, n'agiteeka ku mutwe gwe. Engule eyo yali ya zaabu n'amayinja ag'omuwendo, ng'ezitowa kilo nga amakumi asatu mu ttaano. Dawudi n'anyaga n'ebitundu ebirala bingi nnyo mu kibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aggya engule ya kabaka waabwe ku mutwe gwe; n'obuzito bwayo bwali talanta eya zaabu, ne mu yo nga mulimu amayinja ag'omuwendo omungi; n'eteekebwa ku mutwe gwa Dawudi. N'aggyamu omunyago ogw'ekibuga, mungi nnyo nnyini.