2 Samuel 12:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu abaalimu yabaggyamu n'abassa ku gw'okukola n'emisumeeni, n'ensuuluulu ez'ebyuma n'embazzi ez'ebyuma, n'abakozesa amataffaali. Bw'atyo bwe yakola ne ku bibuga byonna eby'Abammoni. Olwo Dawudi n'akomawo mu Yeruzaalemu n'eggye lyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aggya abantu abaali mu kibuga, n’abatwala okuba abapakasi; ne bakozesanga emisomeeno, n’ensuuluulu, n’embazzi, n’abalala ne babumbanga amatoffaali. Mu ngeri y’emu n’akozesanga abantu ab’ebibuga byonna eby’abaana ba Amoni. Oluvannyuma Dawudi n’eggye lye lyonna, ne baddayo e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu baamu n'abaggyamu, n'abakozesa emirimu nga bakozesa emisumeeno, n'ensuuluulu, n'embazzi, era n'abakozesa mu kwokya amatoffaali. Era bw'atyo bwe yakola abantu bonna mu bibuga by'Abamoni. Awo Dawudi n'abantu be bonna ne baddayo e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu baamu n'abaggyamu, n'abakozesa emirimu nga bakozesa emisumeeno, n'ensuuluulu, n'embazzi, era n'abakozesa mu kwokya amatoffaali. Era bw'atyo bwe yakola abantu bonna mu bibuga by'Abammoni. Awo Dawudi n'abantu be bonna ne baddayo e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aggyamu abantu abaali omwo, n'abassa wansi w'emisomeeno n'amannyo ag'ekyuma n'embazzi ez'ekyuma, n'abayisa mu kyokero ky'amatoffaali: awo bw'atyo bwe yakola ebibuga byonna eby'abaana ba Amoni. Dawudi n'abantu bonna ne baddayo e Yerusaalemi.