2 Samuel 12:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omugenyi bwe yajja ew'omugagga, omugagga yalemwa okukwata ku ndiga ne ku nte ze, afumbire omugenyi eyali azze ewuwe, wabula yakwata kaliga ka musajja omwavu, n'akafumbira eyali azze ewuwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Lwali lumu ne wajja omutambuze eri nnaggagga, naye nnaggagga oyo n’atayagala kuddira emu ku ndiga ze oba nte ze okuteekerateekera omutambuze oyo ekyokulya. Kyeyava addira omwana gw’endiga guli ogw’omwavu n’aguteekerateekera omugenyi we.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne wajja omutambuze eri omugagga oyo, n'alema okutoola ku ndiga ze ye ne ku nte ze ye, okufumbira omutambuze eyajja gy'ali, naye n'atwala omwana gw'endiga ogw'omwavu, n'agufumbira omusajja azze gy'ali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka ew'omugagga ne wajja omugenyi eyali yeetambulira eŋŋendo ze. Omugagga n'atayagala kutta emu ku ndiga ze oba ku nte ze afumbire omutambuze oyo azze gy'ali, naye n'akwata omwana gw'endiga ogw'omwavu, n'agufumbira omuntu oyo azze gy'ali”.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne wajja omutambuze eri omugagga oyo, n'alema okutoola ku ndiga ze ye ne ku nte ze ye, okufumbira omutambuze eyajja gy'ali, naye n'atwala omwana gw'endiga ogw'omwavu, n'agufumbira omusajja azze gy'ali.