2 Samuel 12:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusungu bwa Dawudi ne bweserera ku musajja oli, n'agamba Natani nti: “Mazima Omukama nga mulamu, omusajja oyo eyakola ekyo agwanidde kufa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’asunguwalira nnyo omusajja nnaggagga, n’ayogera nti, “ Mukama nga bw’ali omulamu, omusajja akoze ekintu bwe kityo ateekwa
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'asunguwalira nnyo omusajja; n'agamba Nasani nti, “Mukama nga bw'ali omulamu, omusajja oyo eyakola ekyo asaanidde kufa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'asunguwalira nnyo omuntu oyo. N'agamba Natani nti: “Ndayira Katonda omulamu, nti omuntu eyakola ekyo asaanira kufa!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'asunguwalira nnyo omusajja; n'agamba Nasani nti Mukama nga bw'ali omulamu, omusajja eyakola ekyo asaanidde okufa: