2 Samuel 12:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akaliga ajja kukagatta n'obuliga buna, kubanga yakola ekyo n'atalaga busaasizi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okusasula emirundi ena olw’ekikolwa ekyo, kubanga talina kusaasira, era asaanira attibwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era alizzaawo omwana gw'endiga emirundi ena (4), kubanga bweyakola ekyo teyalina kusaasira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era omwana gw'endiga ogwo aguliwemu endiga nnya, kubanga ekyo kye yakola yakikola nga talina kusaasira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era alizzaawo omwana gw'endiga emirundi ena, kubanga yakola ekyo, era kubanga teyalina kusaasira.