2 Samuel 12:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Natani n'agamba Dawudi nti: “Ggwe musajja oyo! Kino Omukama Katonda wa Yisirayeli ky'agamba: ‘Nakusiiga omuzigo obeere kabaka wa Yisirayeli, era nakuwonya mu mikono gya Sawulo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nasani n’agamba Dawudi nti, “Omusajja oyo ye ggwe. Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nakufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri, ne nkulokola mu mukono gwa Sawulo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Nasani n'agamba Dawudi nti, “Ye ggwe. Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti, ‘Nakufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri ne nkuggya mu mukono gwa Sawulo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Natani n'agamba Dawudi nti: “Omuntu oyo, ye ggwe. Era bw'ati Mukama Katonda wa Yisirayeli bw'agamba nti: ‘Nakufukako omuzigo okuba kabaka wa Yisirayeli, ne nkuggya mu mikono gya Sawulo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Nasani n'agamba Dawudi nti Ye ggwe. Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Nakufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri ne nkuggya mu mukono gwa Sawulo;