2 Samuel 12:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne nkuwa ennyumba ya mukama wo, ne bakazi ba mukama wo ne mbassa mu mikono gyo, ne nkuwa ennyumba ya Yisirayeli n'eya Yuda. Bino bwe biba nga bitono, naandikwongeddeko n'ebisinga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne nkuwa ennyumba ya mukama wo, ne nkukwasa ne bakyala ba mukama wo, ne nkuwa ennyumba ya Isirayiri ne Yuda; ebyo singa byali tebimala nandikwongedde bingi n’okusingawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne nkuwa ennyumba ya mukama wo, ne bakazi ba mukama wo ne mbakuwa mu kifuba kyo, ne nkuwa ennyumba ya Isiraeri n'eya Yuda; n'ebyo singa byali bitono, n'andikwongeddeko ne birala bingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne nkuwa ennyumba ya mukama wo, ne bakazi be ne mbakuwa babe babo, ne nkuwa abantu ab'omu nnyumba ya Yisirayeli n'ab'omu ya Yuda. Era singa ebyo bibadde bitono nnyo, nandikwongedde n'ebirala ebisingawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne nkuwa ennyumba ya mukama wo, ne bakazi ba mukama wo ne mbakuwa mu kifuba kyo, ne nkuwa ennyumba ya Isiraeri n'eya Yuda; n'ebyo singa bibadde bitono, nandikwongeddeko bino na bino.