2 Samuel 12:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki kale wagaye ekigambo ky'Omukama n'okola ekibi mu maaso ge? Wuriya Omukitti wamutta n'ekitala, mukazi we n'omutwala abeere mukazi wo; wamussa kitala ky'Abammoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kiki ekikunyoomezza ekigambo kya Mukama, n’okukola n’okola ekibi bwe kityo mu maaso ge? Watta Uliya Omukiiti n’ekitala, n’otwala mukyala we n’omufuula owuwo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kiki ekikunyoomezza ekigambo kya Mukama okukola ebiri mu maaso ge ebibi? Osse Uliya Omukiiti n'ekitala, n'otwala mukazi we okuba mukazi wo, omusse n'ekitala eky'abaana ba Amoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale lwaki onyoomye ekigambo kya Mukama n'okola ebibi mu maaso ge? Watta Wuriya Omuhiiti, Abammoni gwe battira mu lutalo, n'otwala mukazi we okuba mukazi wo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiki ekikunyoomezza ekigambo kya Mukama okukola ebiri mu maaso ge ebibi? osse Uliya Omukiiti n'ekitala n'otwala mukazi we okuba mukazi wo, n'omutta n'ekitala eky'abaana ba Amoni.