2 Samuel 13:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'amwanukula nti: “Togeza mwannyinaze, togeza okunkaka. Ekintu nga kino tekikolebwa mu Yisirayeli; tokola eky'obugwagwa ekyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amuddamu nti, “Nedda, mwannyinaze, tonkwata n’amaanyi. Ekyo tekikolwa mu Isirayiri. Tokola kya kivve bwe kityo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tamali n'amuddamu nti, “Nedda mwannyinaze, tonkwata, kubanga ekintu nga kino tekikolebwa mu Isiraeri. Tokola kintu kino eky'obugwenyufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tamari n'amuddamu nti: “Nedda mwannyinaze, tonkwata, kubanga ekintu nga kino tekikolebwa mu Yisirayeli. Tokola kintu kino eky'obugwenyufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amuddamu nti Nedda, mwannyinaze, tonkwata; kubanga tekigwanidde kukola kigambo ekifaanana bwe kityo mu Isiraeri: tokola busirusiru buno.