2 Samuel 13:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Amunoni teyamuwuliriza; engeri gye yali amusinza maanyi, n'amukaka, ne yeebaka naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye n’agaana okumuwuliriza, n’amukwata olw’empaka, kubanga yali amusinza amaanyi, ne yeebaka naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Amunoni n'atamuwuliriza, era kubanga yamusinza amaanyi, n'amukwata lwa mpaka, ne yeebaka naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Amunooni n'atamuwuliriza, era kubanga yamusinza amaanyi, n'amukwata lwa mpaka, ne yeebaka naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'atakkiriza kuwulira ddoboozi lye: naye kubanga yamusinga amaanyi n'amukwata n'asula naye.