2 Samuel 13:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amunoni n'amukyawa nnyo ne ssekukyawa yenna; mu mazima okukyawa kwe yamukyawamu nga kusingira wala okwagala kwe yali amwagaddemu. Amunoni n'amugamba nti: “Situka, genda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma Amunoni n’amukyawa nnyo nnyini, okusinga ne bwe yamwagala, n’amulagira nti, “Golokoka ofulume.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Amunoni n'alyoka amukyawa ekitakyayika; kubanga okukyawa kwe yamukyawa kwasinga okwagala kwe yamwagala. Amunoni n'amugamba nti, “Situka ogende!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Amunooni n'akyawa Tamari ebitakyayika. Engeri gye yamukyawamu yasinga okwegomba kwe yamwegombamu. Amunooni n'amugamba nti: “Situka ogende!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Amunoni n'alyoka amukyawa ekitakyayika; kubanga okukyawa kwe yamukyawa kwasinga okwagala kwe yamwagala. Amunoni n'amugamba nti Golokoka ogende.