2 Samuel 13:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'amwanukula nti: “Nedda; eky'okungoba kino kibi nnyo n'okusinga ky'ova okunkola.” Amunoni n'agaana okumuwuliriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tamali n’amuddamu nti, “Nedda! Okungoba kibi okusinga ekikolwa ky’onkoze.” Naye n’agaana okumuwuliriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tamali n'addamu nti, “Nedda mwannyinaze, eky'okunsindikiriza kibi nnyo okusinga kyewasose okukola.” Naye n'atamuwuliriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Tamari n'amuddamu nti: “Nedda, eky'okunsindiikiriza kibi nnyo n'okusinga ky'osoose okukola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Nedda, kubanga ekyonoono kino ekinene ky'onkola ng'ongoba kisinga kiri ky'onkoze. Naye n'ataganya kumuwulira.