2 Samuel 13:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali ayambadde ekyambalo kiwanvu eky'amajjolobera; bwe gityo eminagiro abambejja ba kabaka embeerera gye baayambalanga. Omuweereza w'oli n'amufulumya, n'aggalawo, n'asiba oluggi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omuddu we n’afulumya Tamali ebweru, n’aggalawo oluggi. Yali ayambadde ekyambalo ekiwanvu nga ky’amabala mangi, kubanga eyo ye yabeeranga ennyambala ey’abambejja embeerera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tamali yali ayambadde ekyambalo eky'amabala amangi; kubanga bwe batyo bwe baayambalanga abawala ba kabaka embeerera. Awo omuddu n'amufulumya n'amuggalira ebweru.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tamari yali ayambadde ekyambalo eky'amabala amangi, kubanga abambejja abatannamanya musajja bwe batyo bwe baayambalanga. Awo omuweereza wa Amunooni n'afulumya Tamari, n'amusibira ebweru.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yali ayambadde ekyambalo eky'amabala amangi: kubanga bwe baayambalanga bwe batyo abawala ba kabaka abatamanyi musajja. Awo omuddu we n'amufulumya n'asiba oluggi ennyuma we.