2 Samuel 13:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tamari ne yeeyiwa enfuufu mu mutwe, ekiteeteeyi ekiwanvu eky'amajjolobera n'akiyuza, emikono n'agissa ku mutwe, n'agenda ng'atambula nga bw'atema emiranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tamali n’ateeka evvu mu mutwe gwe, n’ayuza ekyambalo kye, n’ateeka omukono ku mutwe gwe n’agenda ng’akaaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Tamali n'ateeka evvu ku mutwe gwe n'ayuza ekyambalo kye eky'amabala amangi kye yali ayambadde; ne yeetikka emikono gye ku mutwe gwe n'agenda ng'akaaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tamari n'ateeka evvu mu mutwe gwe, n'ayuza ekyambalo kye eky'amabala amangi kye yali ayambadde, ne yeetikka emikono gye ku mutwe, n'agenda ng'akaaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Tamali n'ateeka evvu ku mutwe gwe n'ayuza ekyambalo kye eky'amabala amangi kye yali ayambadde; ne yeetikka omukono gwe n'agenda ng'akaaba.