2 Samuel 13:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amunoni ne kimuluma, n'alwala n'okulwala olw'okwagala Tamari mwannyina, kubanga yali mbeerera nga tasobola kumukola kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amunoni n’atawaana nnyo mu nsonga eyo n’okulwala n’alwala, kubanga Tamali yali mbeerera, Amunoni n’akisanga nga kizibu okumufuna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Amunoni naayaka olw'okwegomba okubeera ne mwannyina Tamali; n'okulwala n'alwala; Tamali yali tannamanya musajja, Amunoni n'akirowooza nga kizibu okumufuna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amunooni n'anyolwa, n'okulwala n'alwala olw'okwagala ennyo mwannyina Tamari. Kubanga Tamari yali tannamanya musajja, Amunooni n'alaba nga kizibu okumufuna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Amunoni ne yeeraliikirira bw'atyo n'okulwala n'alwala olwa mwannyina Tamali; kubanga yali tannamanya musajja; Amunoni n'akirowooza nga kizubu okumukola ekigambo kyonna.