2 Samuel 13:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwannyina Abusalomu n'amugamba nti: “Mwannyoko Amunoni abadde naawe? Naye nno kati mwannyinaze, weesirikire; ye mwannyoko; ekintu ekyo tokissaako mutima.” Tamari n'abeera yekka eyo mu nnyumba ya Abusalomu mwannyina nga yesunsulise.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abusaalomu mwannyina n’amubuuza nti, “Obadde ne mwannyoko Amunoni? Sirikawo mwannyinaze, oyo mwannyoko. Ekyo kireme okukunakuwaza.” Awo Tamali n’abeeranga ne mwannyina Abusaalomu, nga mukazi munaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abusaalomu mwannyina n'amugamba nti, “Amunoni mwannyoko yeegasse naawe? Naye kaakano sirika, mwannyinaze; ye mwannyoko; ekigambo ekyo kireme okukunakuwaza omwoyo.” Awo Tamali n'abeera mu nnyumba ya mwannyina Abusaalomu nga talina bba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abusaalomu mwannyina n'amubuuza nti: “Amunooni mwannyoko abadde naawe? Wabula kaakano sirika, mwannyinaze, oyo mwannyoko, era kino kireme kukunakuwaza nnyo.” Tamari n'abeera mu nnyumba ya Abusaalomu mwannyina, kyokka ng'asigadde mu bbanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abusaalomu mwannyina n'amugamba nti Amunoni mwannyoko abadde naawe? naye kaakano sirika, mwannyinaze: ye mwannyoko; ekigambo ekyo kireme okukunakuwaza omwoyo. Awo Tamali n'abeera mu nnyumba ya mwannyina Abusaalomu nga talina bba.