2 Samuel 13:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye Abusalomu n'asiriikirira Amunoni, nga tayogera naye kigambo, kibeere kirungi oba kibi; anti Abusalomu yali akyaye Amunoni olw'okwonoona mwannyina Tamari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abusaalomu n’atabaako kigambo ky’ayogera ne Amunoni, ekirungi oba ekibi, kyokka n’akyawa Amunoni kubanga yayonoonyesa Tamali mwannyina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abusaalomu n'akyawa Amunoni kubanga yali akutte Tamali mwannyina, kyokka Abusaalomu n'atayogera na Amunoni kigambo na kimu, newakubadde ekirungi, wadde ekibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abusaalomu n'akyawa Amunooni kubanga yali akutte Tamari mwannyina, kyokka Abusaalomu n'atayogera na Amunooni kigambo na kimu, newaakubadde ekirungi, wadde ekibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abusaalomu n'atayogera ne Amunoni newakubadde ebirungi newakubadde ebibi: kubanga Abusaalomu n'akyawa Amunoni, kubanga yali akutte Tamali mwannyina.