2 Samuel 13:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwatuuka, nga wayise emyaka ebiri, abamwako endiga za Abusalomu ebyoya ne bajja e Baali-Kazori ekiri okumpi ne Efurayimu. Abusalomu n'ayita batabani ba kabaka bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waayitawo emyaka ebiri nga kiseera kya kusala ebyoya by’endiga, ng’abasazi ba Abusaalomu bali e Baalukazoli, ekiriraanye Efulayimu, Abusaalomu n’ayita abaana ba kabaka bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka nga wayiseewo emyaka ebiri, Abusaalomu yalina abasala ebyoya by'endiga ze e Baalu-kazoli, ekiri ku mabbali ga Efulayimu; Abusaalomu n'ayita abaana ba kabaka bonna babeereyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga wayiseewo emyaka ebiri, Abusaalomu yalina abasala ebyoya by'endiga ze e Baalihazori okumpi ne Efurayimu, n'ayita abalangira bonna babeereyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka emyaka ebiri emirambirira bwe gyayitawo, Abusaalomu yalina abasala ebyoya by'eidiga ze e Baalukazoli, ekiri ku nabbali ga Efulayimu: Abusaalomu n'ayita abaana ba kabaka bonna.