2 Samuel 13:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ajja ewa kabaka n'amugamba nti: “Abamwako endiga ebyoya z'omuweereza wo batuuse. Nkwegayiridde, kabaka ajje n'abakungu be ew'omuweereza we.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abusaalomu n’agenda eri kabaka n’amugamba nti, “Omuddu wo alina abasazi ab’ebyoya by’endiga baaleese. Nkusaba kabaka n’abakungu be, mujje munjagulizeeko.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abusaalomu n'agenda eri kabaka n'amugamba nti, “Laba, omuddu wo alina abasala ebyoya by'endiga; nkwegayiridde kabaka n'abaddu be bagende wamu nange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Abusaalomu n'agenda eri kabaka n'amugamba nti: “Mukama wange, nnina abasala ebyoya by'endiga. Nkusaba ojje n'abaweereza bo mugende wamu nange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abusaalomu n'ajja eri kabaka n’ayogera nti Laba nno, omuddu wo alina abasala ebyoya by'endiga; nkwegayiridde, kabaka n'abbaddu be bagende n'omuddu wo.