2 Samuel 13:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba Abusalomu nti: “Togeza, mwana wange, togeza kugamba ffenna tujje, kiyinza okukukaluubiriza.” Newandibadde Abusalomu yamwekubako nnyo, naye ye yagaana okugenda; wabula yamuwa omukisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’amuddamu nti, “Nedda, mwana wange. Ffenna bwe tunajja, tujja kuzitoowerera.” Abusaalomu n’amwegayirira nga bw’amuwaliriza, naye n’agaana okugenda, wabula n’amusabira omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'agamba Abusaalomu nti, “Nedda, mwana wange, tuleme okugenda fenna, tuleme okukuzitoowerera.” Abusaalomu n'amwetayirira, kyokka kabaka Dawudi n'agaana okugenda, wabula n'amusabira omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'agamba Abusaalomu nti: “Nedda, mwana wange, tetujja kugenda ffenna tuleme kukuzitoowerera.” Abusaalomu n'amwetayirira, kyokka Kabaka Dawudi n'agaana okugenda, wabula n'amusabira omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kakaka n'agamba Abusaalomu nti Nedda, mwana wange, tuleme okugenda fenna, tuleme okukuzitoowerera. N'amutayirira: naye n'atakkiriza kugenda, naye n'amusabira mukisa.