2 Samuel 13:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abusalomu n'amwekubako, n'amuwaliriza okumuteera Amunoni ne batabani ba kabaka bonna. Abusalomu n'akola embaga, nga gy'obeera nti ya kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abusaalomu n’amwegayirira nnyo okutuusa bwe yakkiriza Amunoni n’abaana ba kabaka bonna okugenda naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abusaalomu n'amwetayirira akkirize Amunoni n'abaana ba kabaka bonna okugenda naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Abusaalomu n'amwetayirira okutuusa lwe yakkiriza Amunooni n'abalangira abalala bonna okugenda naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abusaalomu n'amutayirira akkirize Amunoni n'abaana ba kabaka bonna okugenda naye.