2 Samuel 13:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abusalomu n'alagira basajja be nti: “Mwekkaanye Amunoni; omutima gwe bwe gunaaba gucamuse olw'evviini, mmala mbagamba nti: ‘Mukube Amunoni,’ mumutte; temutya, anti nze mbalagidde. Mugume, mubeere bazira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abusaalomu n’alagira abaddu be nti, “Muwulire! Mugenderere okulaba Amunoni ng’atudde, n’omutima gwe nga musanyuukirivu; bwe n’abagamba nti, ‘mutte Amunoni,’ mumutte. Temutya, si nze mpadde ekiragiro? Mube n’amaanyi era mube bazira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abusaalomu n'alagira abaweereza be nti, “Mutunuulire Amunoni, bwe mumulaba ng'atamidde omwenge, era ne mbagamba nti, ‘Mukube Amunoni mumutte,’ temutya kubanga nze nnaaba mbalagidde. Mugume mube bazira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abusaalomu n'alagira abaweereza be nti: “Mutunuulire Amunooni, bwe mumulaba ng'atamidde omwenge, era ne mbagamba nti: ‘Mukube Amunooni mumutte,’ temutya kubanga nze nnaaba mbalagidde. Mugume mube bazira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abusaalomu n'alagira abaddu be ng'ayogera nti Mwekkaanye nno, omutima gwa Amunoni nga gusanyuse olw'omwenge; awo bwe nnaabagamba nti Mufumite Amunoni, mumutte, temutya: si nze mbalagidde? mugume emyoyo mube abazira.