2 Samuel 13:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja ba Abusalomu ne bakola Amunoni nga Abusalomu bwe yali abalagidde. Batabani ba kabaka ne basituka, buli omu ne yeebagala ennyumbu ye, ne badduka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja ba Abusaalomu ne batta Amunoni nga Abusaalomu bwe yabalagira. Abaana ba kabaka bonna ne basituka ne beebagala buli muntu ennyumbu ye ne badduka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaddu ba Abusaalomu ne bakola Amunoni nga Abusaalomu bw'alagidde. Awo abaana ba kabaka bonna ne balyoka bagolokoka ne beebagala buli muntu ennyumbu ye ne badduka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaweereza ne bakola nga Abusaalomu bwe yabalagira, ne batta Amunooni. Abalangira bonna abaasigalawo ne basituka ne beebagala ennyumbu zaabwe ne badduka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaddu ba Abusaalomu ne bakola Amunoni nga Abusaalomu bw'alagidde. Awo abaana ba kabaka bonna ne balyoka bagolokoka, ne beebagala buli muntu ennyumbu ye ne badduka.