2 Samuel 13:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amunoni yalina mukwano gwe, erinnya lye Yonadabu, mutabani wa Simewa, muganda wa Dawudi; yali musajja mukalabakalaba nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Amunoni yalina mukwano gwe ennyo, eyayitibwanga Yonadabu mutabani wa Simeeya mukulu wa Dawudi, eyali omusajja omukujjukujju.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Amunoni yalina mukwano gwe, erinnya lye Yonadabu, mutabani wa Simeya muganda wa Dawudi; era Yonadabu yali musajja mugerengetanya nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Amunooni yalina mukwano gwe erinnya lye Yonadaabu, mutabani wa Simeeya, muganda wa Dawudi. Yonadaabu oyo yali musajja mugerengetanya nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Amunoni yalina mukwano gwe, erinnya lye Yonadabu, mutabani wa Simeya muganda wa Dawudi: era Yonadabu yali musajja mugerengetanya nnyo.