2 Samuel 13:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baba bakyagenda, amawulire ne gatuuka Dawudi nti: “Abusalomu asse batabani ba kabaka bonna, tewasigadde n'omu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baali bakyali mu kkubo, amawulire ne gatuuka eri Dawudi nti, “Abusaalomu asse abaana ba kabaka bonna, era tewasigadde n’omu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe baali nga bakyali mu kkubo, Dawudi n'aleeterwa ebigambo nti, “Abusaalomu asse abaana ba kabaka bonna, tekusigadde n'omu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baba bakyali mu kkubo, olugambo ne lutuuka ku Dawudi nga lugamba nti: “Abusaalomu asse abalangira bonna, obutalekaawo n'omu!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe baali nga bakyali mu kkubo, Dawudi n'aleeterwa ebigambo nga boogera nti Abusaalomu asse abaana ba kabaka bonna, tekusigadde n'omu.