2 Samuel 13:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'asituka, n'ayuza ebyambalo bye, ne yeebaka ku ttaka; n'abaweereza be bonna ne bayimirira awo ebyambalo byabwe nga biyuzeeyuze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’agolokoka n’ayuza ebyambalo bye, ne yeebaka mu ttaka n’abaddu be bonna abaaliwo ne bayuza ebyambalo byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'asituka n'ayuza ebyambalo bye n'agalamira ku ttaka; abaddu be bonna abali naye nabo ne bayuza engoye zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'asituka n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'agalamira ku ttaka. Abaweereza abaali naye nabo ne bayuza ebyambalo byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'agolokoka n'ayuza ebyambalo bye n'agalamira ku ttaka; abaddu be bonna ne bayimirira gy'ali nga bayuzizza engoye zaabwe.