2 Samuel 13:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonadabu mutabani wa Simewa, muganda wa Dawudi, n'agamba nti: “Mukama wange aleme kutya nti abavubuka, batabani ba kabaka, bonna battiddwa; Amunoni yekka y'afudde, kubanga okuva lwe yayonoona Tamari mwannyina, ekyo kibadde tekiva ku mumwa gwa Abusalomu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yonadabu mutabani wa Simeeya, mukulu wa Dawudi, n’ayogera nti, “Mukama wange kabaka aleme okulowooza nga basse abalangira bonna, Amunoni yekka y’afudde. Era ekyo kye kyali ekigendererwa kya Abusaalomu okuva ku lunaku Amunoni lwe yakwata Tamali mwannyina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yonadabu, mutabani wa Simeya muganda wa kabaka, n'addamu n'ayogera nti, “Mukama wange aleme okulowooza nti basse abaana ba kabaka bonna abalenzi; Amunoni yekka ye afudde; kubanga Abusaalomu yateesa bw'atyo ng'amaliridde okuva ku lunaku Amunoni lwe yakwata Tamali mwannyina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yonadaabu, mutabani wa Simeeya muganda wa Dawudi n'agamba nti: “Mukama wange, leka kulowooza nti basse abaana bo bonna ab'obulenzi, ayi kabaka. Amunooni yekka ye afudde, kubanga Abusaalomu yalabika ng'amaliridde okumutta, okuviira ddala ku lunaku lwe yakwata mwannyina Tamari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yonadabu, mutabani wa Simeya muganda wa kabaka, n'addamu n'ayogera nti Mukama wange aleme okulowooza nga basse abalenzi bonna abaana ba kabaka; kubanga Amunoni yekka ye afudde: kubanga Abusaalomu yateesa bw'atyo ng'akimalirira okuva ku lunaku lwe yakwata Tamali mwannyina.