2 Samuel 13:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, mukama wange kabaka aleme kweraliikirira olw'ebigambibwa nti: ‘Batabani ba kabaka bonna battiddwa,’ kubanga Amunoni yekka y'afudde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo mukama wange kabaka aleme okweraliikirira olw’amawulire g’afunye agagamba nti abaana ba kabaka bonna bafudde. Amunoni yekka ye afudde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno mukama wange kabaka ekigambo ekyo kireme okumunakuwaza omwoyo okulowooza nti abaana ba kabaka bonna bafudde; kubanga Amunoni yekka ye afudde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno mukama wange kabaka, eky'okugamba nti batabani bo bonna bafudde lema na kukirowoozaako. Amunooni yekka ye afudde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno mukama wange kabaka ekigambo ekyo kireme okumunakuwaza omwoyo okulowooza ng'abaana ba kabaka bonna bafudde: kubanga Amunoni yekka ye afudde.