2 Samuel 13:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye Abusalomu mu kadde ako yali adduse. Omusajja omukuumi bwe yasitula amaaso, n'alaba abantu bangi ebugwanjuba; baali bajja nga bakkirira akasozi. Omukuumi n'ajja n'abuulira kabaka nti: “Ndabye abantu mu kkubo ly'e Oronayimu ku kasozi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka Abusaalomu n’adduka. Omuvubuka omukuumi n’ayimusa amaaso ge, n’alengera abantu bangi mu kkubo ery’ebugwanjuba nga bakkirira ku mabbali g’olusozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abusaalomu n'adduka. Awo omulenzi eyali ku gw'okukuuma bwe yayimusa amaaso, n'alengera abantu bangi nga bajja, nga bakutte ekkubo ery'oku lusozi emabega we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abusaalomu n'adduka. Omuserikale eyali ku gw'okukuuma bwe yayimusa amaaso, n'alengera abantu bangi nga bajja, nga bakutte ekkubo ery'oku lusozi emabega we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abusaalomu n'adduka. Awo omulenzi eyakuumanga n'ayimusa amaaso ge n'atunula, awo, laba, abantu bangi nga bajja nga bafuluma mu kkubo ery'oku lusozi ennyuma we.