2 Samuel 13:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwali okwogera, batabani ba kabaka ne batuuka, ne batema emiranga, ne bakaaba, ne kabaka n'abaweereza be bonna ne bakaaba nnyo nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yali yakamala okwogera, abaana ba kabaka ne bayingira nga bakuba ebiwoobe. Kabaka n’abaddu be nabo ne bakaaba nnyo nnyini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe yamala okwogera, abaana ba kabaka ne bajja ne bayimusa amaloboozi gaabwe; era ne kabaka n'abaddu be bonna ne bakaaba nnyo nnyini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga kyajje amale okwogera ebyo, abalangira ne batuuka, ne batema emiranga, ne bakaaba amaziga. Era ne kabaka n'abaweereza be bonna, ne bakaaba nnyo amaziga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe yamala okwogera, awo, laba, abaana ba kabaka ne bajja ne bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba: era ne kabaka n'abaddu be bonna ne bakaaba nnyo nnyini.