2 Samuel 13:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abusalomu n'adduka n'alaga ewa Talumayi mutabani wa Ammiwudi kabaka w'e Gessuru. Dawudi n'asigala ng'akaabira omwana we ennaku zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abusaalomu ye n’addukira eri Talumaayi mutabani wa Ammikuli, kabaka w’e Gesuli, Dawudi n’amukaabiranga buli lunaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abusaalomu n'adduka, n'agenda eri Talumayi mutabani wa Ammikuli, kabaka w'e Gesuli. Dawudi n'akungubagiranga mutabani we Amunoni buli lunaku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abusaalomu n'addukira ewa kabaka w'e Gesuri, gwe bayita Talumayi mutabani wa Ammihudi. Dawudi n'akungubagira mutabani we Amunooni buli lunaku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abusaalomu n'adduka, n'agenda eri Talumayi mutabani wa Ammikuli, kabaka w'e Gesuli. Dawudi n'anaakuwaliranga mutabani we buli lunaku.