2 Samuel 13:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kabaka ng'amaze okukubagizibwa olw'okufa kwa Amunoni, omutima gwe ne gutandika okumulumira Abusalomu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omutima gwa Dawudi ne gwegomba okulaba ku Abusaalomu, kubanga yali akubagizibbwa olw’okufa kwa Amunoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka bwe yamala okukungubagira Amunoni, n'alumirwa mutabani we Abusaalomu n'ayagala okugenda gyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka bwe yamala okukungubagira Amunooni, n'alumirwa mutabani we Abusaalomu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi ne yeegomba okuvaayo okugenda eri Abusaalomu: kubanga yakubagizibwa olwa Amunoni, okuba ng'afudde.