2 Samuel 13:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: “Mutabani wa kabaka, lwaki okogga engeri eyo buli lukya? Lwaki tombuulirako?” Amunoni n'amugamba nti: “Tamari, mwannyina Abusalomu muganda wange mmwagala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abuuza Amunoni nti, “Kiki ekikutawanyanga buli nkya, ggwe omwana wa kabaka? Lwaki tombulira?” Amunoni n’amugamba nti, “Njagala Tamali, mwannyina Abusaalomu muganda wange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amugamba nti, “Ggwe omwana wa kabaka lwaki weeyongera okukenena buli lunnaku? Kiki mbuulira.” Amunoni n'addamu nti, “Njagala Tamali mwannyina Abusaalomu muganda wange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba Amunooni nti: “Omulangira, lwaki weeyongera okukogga buli lunaku? Tombuulira?” Amunooni n'amugamba nti: “Neegomba Tamari, mwannyina muganda wange Abusaalomu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Ekikukozza bw'otyo bulijjo bulijjo kiki, ggwe omwana wa kabaka? tombuulire? Amunoni n'amugamba nti Njagala Tamali mwannyina muganda wange Abusaalomu.