2 Samuel 13:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonadabu n'amwanukula nti: “Weebake ku kitanda kyo, obeere ng'omulwadde. Kitaawo bw'anajja okukulaba, omugambe nti: ‘Nkwegayiridde, njagala mwannyinaze Tamari ajje ampeereze emmere ndyeko; njagala agintegekere wano nga bwe mmutunuulira, mmulyeko mu ngalo.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yonadabu n’amugamba nti, “Genda mu kitanda weefuule okuba omulwadde. Kitaawo bw’anajja okukulaba mugambe nti, ‘Gamba mwannyinaze Tamali ajje ampe ku kyokulya. Mukkirize anteekereteekere ekyokulya nga mmulabako n’amaaso, n’oluvannyuma andiise.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yonadabu n'amugamba nti, “Galamira ku kitanda kyo weerwazerwaze; kale kitaawo bw'alijja okukulaba, n'omugamba nti, ‘Nkwegayiridde mwannyinaze Tamali ajje ampe emmere okulya, afumbire emmere mu maaso gange nga ndaba agimpe ngirye.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yonadaabu n'amugamba nti: “Galamira ku kitanda kyo, weefuule omulwadde, kitaawo bw'anajja okukulaba omugambe nti: ‘Nkwegayiridde, kkiriza mwannyinaze Tamari ajje ampe akokulya, nkalye, era akateekereteekere mu maaso gange, nkalabe, ye yennyini akampe nkalye.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yonadabu n'amugamba nti Galamira ku kitanda kyo weerwazerwaze: kale kitaawo bw'aliba ng'azze okukulaba, n'omugmaba nti Mwannyinaze Tamali ajje, nkwegayiridde, ampe emmere okulya, era afumbe emmere mu maaso gange ngirabe ngiriire mu ngalo ze.