2 Samuel 13:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amunoni ne yeebaka, ne yeefaananya ng'omulwadde. Kabaka bwe yajja okumulaba, Amunoni n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, njagala mwannyinaze Tamari ajje, anfumbire wano mu maaso gange obugaati nga bubiri, mmulyeko mu ngalo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Amunoni n’agenda n’agalamira ku kitanda kye ne yeefuula okuba omulwadde; kabaka bwe yagenda okumulaba n’okumusaasira, Amunoni n’amugamba nti, “Nkwegayiridde, kkiriza Tamali ajje anfumbire emigaati nga mulaba ku maaso, n’oluvannyuma andiise.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Amunoni n'agalamira ne yeerwazalwaza; awo kabaka bwe yajja okumulaba, Amunoni n'agamba kabaka nti, “Mwannyinaze Tamali ajje, nkwegayiridde, anfumbire emigaati ebiri mu maaso gange agimpe ngirye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amunooni n'agalamira ku kitanda kye, ne yeefuula omulwadde. Kabaka bwe yajja okumulaba, Amunooni n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, kkiriza mwannyinaze Tamari ajje anteekereteekere obugaati bubiri mu maaso gange, ye yennyini abumpe mbulye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Amunoni n'agalamira ne yeerwazalwaza: awo kabaka bwe yajja okumulaba, Amunoni n'agamba kabaka nti Mwannyinaze Tamali ajje, nkwegayiridde, anfumbire emigaati ebiri mu maaso gange ndiire mu ngalo ze.