2 Samuel 13:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'atuma ewa Tamari mu lubiri, n'agamba nti: “Genda mu nnyumba ya mwannyoko Amunoni omufumbireyo ku mmere.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’atumya Tamali n’amugamba nti, “Genda ewa muganda wo Amunoni mu nnyumba ye, omuteekereteekere ekyokulya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'atumira Tamali ng'agamba nti, “Genda nno mu nnyumba ya mwannyoko Amunoni omufumbire emmere.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'atumira Tamari eka ng'agamba nti: “Genda mu nnyumba ya mwannyoko Amunooni, omuteekereteekereyo akokulya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'atuma eka eri Tamali ng'ayogera nti Genda nno eri ennyumba ya muganda we Amunoni omufumbire emmere.