2 Samuel 13:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tamari n'ajja mu nnyumba ya Amunoni mwannyina; yali yeebase mu buliri. N'addira obutta n'abugoya, n'abukulungamu obugaati, n'afumba obugaati awo mu maaso ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tamali n’agenda ewa Amunoni n’amusanga ng’agalamidde ku kitanda kye. Tamali n’addira obuwunga n’abukanda, n’akola emigaati Amunoni ng’alaba, n’agifumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Tamali n'agenda eri ennyumba ya mwannyina Amunoni; n'amusanga ng'agalamidde. N'addira obutta n'abugoya, n'abufumbamu emigaati nga Amunoni alaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tamari n'agenda mu nnyumba mwannyina Amunooni mwe yali ng'agalamidde. N'addira obutta, n'abukanda, n'akolamu emigaati, nga Amunooni amutaddeko abiri, n'agifumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Tamali n'agenda eri ennyumba ya muganda we Amunoni; ye ng'agalamidde. N'addira obutta n'abugoya n'abumba emigaati mu maaso ge n'ayokya emigaati.