2 Samuel 13:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akwata olusaniya, n'abumussa mu maaso; naye Amunoni n'agaana okulya. N'agamba nti: “Bonna mubafulumye okuva we ndi.” Bonna ne bafuluma okuva w'ali,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tamali n’addira olukalango, n’aluggyako bye yafumbirako, Amunoni ng’alaba naye n’agaana okulya. Awo Amunoni n’alagira abaddu be nti, “Buli muntu afulume.” Buli muntu n’afuluma, n’asigalamu ne Tamali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agireetera mu kikalango, n'agissa mu maaso ge; naye n'agaana okulya. Amunoni n'agamba nti, “Abasajja bonna bave we ndi.” Abasajja bonna ne bava waali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akwata kye yagifumbiramu, n'agimujjulira. Kyokka Amunooni n'agaana okulya era n'agamba nti: “Gobawo bonna bave we ndi!” Bonna ne bava w'ali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addira ekikalango n'agifuka mu maaso ge; naye n'agaana okulya. Amunoni n'agamba nti Abasajja bonna bave we ndi. Ne bava w'ali buli musajja.