2 Samuel 14:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu, mutabani wa Zeruya n'ategeera ng'omutima gwa kabaka guzzeemu okumulumira Abusalomu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’ategeera nga omutima gwa kabaka gulumirwa Abusaalomu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'ategeera ng'omutima gwa kabaka gulumirwa Abusaalomu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'amanya nga kabaka alumirwa Abusaalomu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'ategeera ng'omutima gwa kabaka guli eri Abusaalomu.