2 Samuel 14:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba nti: “Singa wabaawo akugambako ekigambo kyonna, mundeetere; tagenda kuddayo kukutawaanya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’addamu nti, “Bwe wanaabeerawo omuntu yenna abaako kya kugamba, mundeetere, taddeyo nate kukutawanya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'ayogera nti, “Buli anaakugambanga ekigambo kyonna, omuleetanga gye ndi so talikukwatako lwa kubiri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'amuddamu nti: “Buli akutiisatiisa mundeetere, tagenda kuddamu kukutawaanya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'ayogera nti Buli anaakugambanga ekigambo kyonna, omuleetanga gye ndi so talikukwatako lwa kubiri.