2 Samuel 14:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'addamu nti: “Kabaka awanjagire Omukama Katonda we, awoolera eggwanga olw'omusaayi aleme kukola kabi, baleme kuzikiriza mutabani wange.” N'addamu nti: “Mazima Omukama nga mulamu, mpaawo luviiri lunaava ku mutwe gwa mwana wo ne lugwa ku ttaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi n’ayogera nti, “Nkwegayiridde, kabaka, ondayirire eri Mukama Katonda wo, awalana eggwanga olw’omusaayi era aziyiza obubi okweyongera ku bubi, mutabani wange aleme okuzikirizibwa.” N’amuddamu nti, “ Mukama nga bw’ali omulamu, tewaliba luviiri olwa mutabani wo olulimuva ku mutwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omukazi n'ayogera nti, “Nkwegayiridde ayi kabaka, saba Mukama Katonda wo aziyize oyo, awalana eggwanga ly'omusaayi aleme okweyongera okuzikiriza, baleme okuzikiriza mutabani wange.” Kabaka n'addamu nti, “Mukama nga bw'ali omulamu, tewaliba luviiri lumu lwa mutabani wo oluligwa wansi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi n'agamba nti: “Nkwegayiridde, ayi kabaka, ojjukire Mukama Katonda wo, omuntu oyo omuwoolezi w'eggwanga ery'okuyiwa omusaayi, aleme okweyongera okuzikiriza, baleme okuzikiriza mutabani wange.” Kabaka n'agamba nti: “Mukama nga bw'ali omulamu, tewaliba wadde oluviiri n'olumu olwa mutabani wo, oluligwa wansi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'alyoka ayogera nti Nkwegayiridde, kabaka ajjukire Mukama Katonda wo, awalana eggwanga ly'omusaayi aleme okweyongera okuzikiriza, baleme okuzikiriza mutabani wange. N'ayogera nti Mukama nga bw'ali omulamu, tewaliba luviiri lumu lwa mutabani wo oluligwa wansi.