2 Samuel 14:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omukazi n'agamba nti: “Omuzaana wo leka abeeko ky'agamba mukama wange kabaka.” N'agamba nti: “Yogera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omukazi n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde, ka mbeeko ekigambo kye ŋŋamba mukama wange kabaka.” N’amuddamu nti, “Yogera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omukazi n'ayogera nti, “Nkwegayiridde, omuzaana wo ayogere ekigambo ne mukama wange kabaka.” Kabaka n'addamu nti, “Yogera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi n'amugamba nti: “Mukama wange, kabaka, nkwegayiridde nzikiriza nze omuweereza wo, mbeeko ekirala kye nkubuulira.” Kabaka n'amugamba nti: “Yogera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omukazi n'ayogera nti Nkwegayiridde, omuzaana wo ayogere ekigambo ne mukama wange kabaka. N'ayogera nti Yogera.