2 Samuel 14:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi n'agamba nti: “Lwaki abantu ba Katonda obakoledde ekifaanana kityo? Okulaba nga kabaka yaayogera ekigambo ekyo, ali ng'eyeesalira yennyini omusango, kubanga kabaka yagaana okuzza owuwe eyagobebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi n’ayogera nti, “Kiki ekikukoza ekigambo bwe kityo abantu ba Katonda? Kabaka aba teyeesalira yekka omusango kubanga takomezaawo omwana we eyagobebwa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukazi n'ayogera nti, “Lwaki wateesa ekigambo ekifaanana bwe kityo eri abantu ba Katonda? Kubanga kabaka bw'alagira bwatyo, aliŋŋaanga eyesalira omusango, bwatakomyawo eka owuwe eyagobebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi n'agamba nti: “Kale lwaki wateeseza abantu ba Katonda ekintu ekifaanana bwe kityo? Weesingisa wekka omusango mu ekyo ky'ova okwogera, ayi kabaka, bw'ogaana okukomyaawo mutabani wo eyagobebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukazi n'ayogera nti Kale wateesezza ki ekigambo ekifaanana bwe kityo eri abantu ba Katonda? kubanga kabaka bw'ayogera ekigambo ekyo, aliŋŋanga aliko omusango, kubanga kabaka takomyawo eka owuwe eyagobebwa.