2 Samuel 14:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno kyenvudde nzija njogere ewa kabaka mukama wange ekigambo kino, kubanga abantu bantiisizza. Omuzaana wo n'agamba nti: ‘Nzija kwogera ewa kabaka, oboolyawo kabaka anaakola muzaana we ky'agambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale nno ekyo kye kyandeese eri kabaka, kubanga abantu bantiisizza, ne baleetera omuweereza wo okulowooza nti, ‘Bwe nnaayogera ne kabaka, mpozzi aliddamu omuweereza we ky’amusaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno, Mukama wange kabaka, kubanga abantu bantiisizzatiisizza, era omuzaana wo nnalowooza nti, “Nja kwogerako ne kabaka, mpozzi kabaka alikola omuzaana we by'amwegayiridde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno, Mukama wange kabaka, kubanga abantu bantiisizzatiisizza kyenvudde nzija nze omuweereza wo njogereko naawe, nga nsuubira nti ayi kabaka, nze omuweereza wo, ononkolera kye nkusaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno kubanga nzize okwogera ekigambo ekyo ne mukama wange kabaka, kyenvudde njija kubanga abantu bantiisizza: omuzaana wo n'ayogera nti Kaakano naayogera ne kabaka; mpozzi kabaka alikola omuzaana we by'amwegayiridde.