2 Samuel 14:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oboolyawo kabaka ajja kuwulira, awonye omuzaana we mu mikono gy'oli ayagala okumalawo nze ne mutabani wange mu busika Katonda bwe yatuwa.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oboolyawo kabaka anaawulira ensonga yange, n’alokola omuzaana we mu mukono gw’omusajja agezaako okunzikiriza nze n’omwana wange okutuggyako obusika Katonda bwe yatuwa.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga kabaka anaawulira, n'awonya omuzaana we mu mukono gw'omusajja ayagala okunzikiriza ffembi ne mutabani wange okutuggya mu busika bwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala ayi kabaka, ojja kuwulira, omponye oyo ayagala okunzikiriza nze ne mutabani wange, atuggye mu butaka bwaffe Katonda bwe yatuwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kabaka anaawulira, okuwonya omuzaana we mu mukono gw'omusajja ayagala okunzikiriza fembi ne mutabani wange okutuggya mu busika bwa Katonda.