2 Samuel 14:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muzaana wo kyavudde agamba nti: ‘Ekigambo kya Mukama wange kabaka kindeetere okuweerako, anti omukama kabaka wange abeera nga malayika wa Katonda, mu kulamula ekirungi n'ekibi.’ Omukama Katonda wo abeere naawe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era omuweereza wo yayogedde mu mutima gwe nti, ‘Ekigambo kya mukama wange kabaka kye kirimpummuza, kubanga mukama wange kabaka ali nga malayika wa Katonda mu kwawulamu ebirungi n’ebibi. Mukama Katonda wo abeere naawe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze omuzaana wo kyenva njogera nti, ‘Nkwegayiridde Mukama wange kabaka ekigambo kyo kimpe emirembe;’ kubanga mukama wange kabaka aliŋŋaanga malayika wa Katonda asobola okwawulamu ebirungi n'ebibi; Mukama Katonda wo abeere naawe!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo nze omuweereza wo ne ŋŋamba nti ekigambo kyo mukama wange kabaka, kinampa emirembe, kubanga ggwe kabaka oli nga malayika wa Katonda, asobola okwawula ekirungi n'ekibi. Mukama Katonda wo abeere naawe!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omuzaana wo n'alyoka ayogera nti Nkwegayiridde, ekigambo kya mukama wange kabaka kibeere kya kusanyusa: kubanga mukama wange kabaka aliŋŋanga malayika wa Katonda okwawulamu ebirungi n'ebibi: era Mukama Katonda wo abeere naawe.