2 Samuel 14:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'ayanukula n'agamba omukazi nti: “Tonkisa kigambo ku bye ŋŋenda okukubuuza.” Omukazi n'agamba nti: “Mukama wange kabaka ayogere.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’agamba omukazi nti, “Tobaako n’ekimu ky’onkisa ku bye nnaakubuuza.” Omukazi n’addamu nti, “Mukama wange kabaka ambuuze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'alyoka addamu n'agamba omukazi nti, “Tonkisa, nkwegayiridde, ekigambo kyonna kye nnaakubuuza.” Omukazi n'ayogera nti, “Mukama wange kabaka mbuuza kaakano.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka, n'agamba omukazi nti: “Tobaako ky'onkisa ku kye ŋŋenda okukubuuza.” Omukazi n'agamba nti: “Mukama wange kabaka, mbuuza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'alyoka addamu n'agamba omukazi nti Tonkisa, nkwegayiridde, ekigambo kyonna kye nnaakubuuza. Omukazi n'ayogera nti Mukama wange kabaka ayogere kaakano.